Isaiah 48

Katonda bye Yayogera Bituukirira

1 a“Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo,
abayitibwa erinnya lya Isirayiri,
era abaava mu nda ya Yuda.
Mmwe abalayirira mu linnya lya Mukama,
era abaatula Katonda wa Isirayiri,
naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.
2 bKubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu,
abeesiga Katonda wa Isirayiri,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
3 cOkuva ku ntandikwa, nayasanguza ebyali bigenda okubaawo;
byava mu kamwa kange ne mbyogera.
Amangwago ne tubikola ne bituukirira.”
4 dKubanga namanya obukakanyavu bwammwe;
ebinywa by’ensingo nga bikakanyavu ng’ekyuma;
ekyenyi ng’ekikomo.
5 eNabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo,
muleme kugamba nti,
“Bakatonda bange be baabikola:
Ekifaananyi kyange ekyole
n’ekifaananyi ekisaanuuse bye byakikola.”
6Mulabe ebintu bino nabibagamba dda,
era temubikkirize?

“Okuva leero nzija kubabuulira ku bintu ebiggya ebigenda okujja,
eby’ekyama bye mutawulirangako.
7Mbikola kaakano,
so si ekiseera ekyayita:
mwali temubiwulirangako mu biseera eby’emabega
si kulwa nga mugamba nti, ‘Laba nnali mbimanyi.’
8 fTowulirangako wadde okutegeera.
Okuva edda n’edda okutu kwo tekuggukanga.
Kubanga namanya nti wali kyewaggula,
okuva ku kuzaalibwa kwo wayitibwa mujeemu.
9 gOlw’erinnya lyange
ndwawo okusunguwala. Olw’ettendo lyange
ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza.
10 hLaba nkugezesezza naye si nga ffeeza.
Nkugezesezza mu kirombe ky’okubonaabona.
11 iKu lwange nze,
ku lwange nze ndikikola. Erinnya lyange nga livumiddwa.
Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.

Isirayiri Enunulibwa

12 j“Mpuliriza ggwe Yakobo.
Isirayiri gwe nalonda.
Nze Nzuuyo.
Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero.
13 kOmukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw’ensi,
era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu.
Bwe mbiyita
byombi bijja.

14 l“Mwekuŋŋaanye mwenna
mujje muwulire!
Ani ku bo eyali alangiridde ebintu bino?
Mukama amwagala; ajja kutuukiriza ekigendererwa kye e Babulooni,
era omukono gwe gwolekere Abakaludaaya.
Abakaludaaya be Bababulooni

15 nNze; Nze nzennyini nze njogedde.
Nze namuyita.
Ndimuleeta
era alituukiriza omulimu gwe.
16 o“Munsemberere muwulirize bino.

“Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama.
Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa.”

Era kaakano Mukama Ayinzabyonna
n’Omwoyo we antumye.

17 pBw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe,
Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Nze Mukama Katonda wo
akuyigiriza okukulaakulana,
akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu.
18 qSinga kale wali owulirizza ebiragiro byange!
Wandibadde n’emirembe egikulukuta ng’omugga!
Era n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja,
19 rezzadde lyo lyandibadde ng’omusenyu
abaana bo ng’obuweke bwagwo.
Erinnya lyabwe teryandivuddewo
wadde okuzikirira nga wendi.”

20 sMuve mu Babulooni,
mudduke Abakaludaaya.
Mugende nga mutegeeza amawulire gano n’essanyu.
Mugalangirire wonna wonna
n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.
Mugambe nti, “Mukama anunudde omuddu we Yakobo!”
21 tSo tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu.
Yabakulukusiza amazzi mu lwazi:
yayasa olwazi
amazzi ne gavaamu.

22 u“Tewali mirembe eri aboonoonyi,” bw’ayogera Mukama.
Copyright information for LugEEEE